Omubaka akiikirira abantu ba Busiro ey’e buva njuba mu Palamenti, Medard Lubega Sseggona, akakasizza baakiikirira nga ye ne babaka banne bwebeetegese okuzza mu ddiiro ensonga ya Federal kubanga bakizudde ye yokka ejja okutaasa banna Uganda ebizibu ebibeetoolodde.
Sseggona abadde ku kabaga kaakoze okwebaza abaamulonda mu Wakiso Town Council.
Agamba nti eggwanga lino lwa kulibuzaabuza naye likkiririza mu nkola ey’ okugabana obuyinza kubanga byebimu ebijja okumalawo omululu mu byobufuzi. Era asinzidde wano n’akakasa nga bwebali mu kubaga amateeka aganaayamba okukendeeza ku zzaala asibye obwavu mu bavubuka abasinga.
Wabula Sseggona, era akakasiza banna Busiro nti nga bbo abalumirirwa eggwanga lino bagenda kusimba nakakongo kukuggya ekkomo ku myaka gy’obukulembeze bw’e ggwanga. Akyewuunyizza okulaba nga banna Uganda tebannamatira nfuga ebakaabya akayirigombe nebakkiriza okubakozesa nga babalimbalimba n’obuntu obutaliimu.