Ssaabasumba w’essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga asabye Kampuni eziyiiya zi yiiyeeyo ebintu ebirala ebikozesebwa okufumba nga bya sente ntono, kiyambe abantu okukomya okutema emiti okwokya amanda oba enku ezokufumbisa n’embaawo, ekyonoonye obutonde bwensi n’okumalawo ebibira.
Ssaabasumba okusaba kuno akukoledde mu Misa ya Ssekukkulu ku Lutikko e Lubaga.
Ye omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi asinzidde mu kusaba kwekumu e Lubaga n’asaba bannayuganda okukuuma obutonde bwensi anti ebibira batitemye ekivuddeko ekyeya mu bitundu by’eggwanga. Ssekandi ayongerako anti abantu beekuulira kabazzi kkugulu bweboonoona obutonde bwensi.