Tukooye okukolera mu mbeera embi

Abakozi abakakalabiza emirimu gyaabwe mukifo ekyasibwaawo Municipality y’e Mubende okunganyizaamu kasasiro ekya Kalagala  Composit  Site batandise okusuulawo emirimu gyaabwe nga balumiriza abakulu mu municipality obutabawa musaala mukiseera ekituufu awamu n’obutabawa bikozesebwa.

Gov’t ya Japan ng’ekolaganira wamu ne municipality y’e Mubende gyebuvudde baguddewo ekifo kino nga wano kasasiro akunganyizibwa okuva mukibuga waleetebwa olw’ono nakolebwaamu ebigimusa nebitundibwa mu balimi.

Abakozi  betusingaanyeewo okuli Nabatanzi  Josephine, Mirembe Faith awamu ne Nakanwaagi Gorret batubulidde nti banaabwe 12 bbo bamaze dda okuduka ku mulimu guno.

Abakozi bano bagaamba nti bakolera mumbeera mbi nnyo kyokka nga tebayina gumboots n’ebikozesebwa ebirala kyokka nga kasasiro gwebakoleramu wabulabe eri obulamu bwaabwe.

Ye Mayor wa municipality ye Mubende Innocent Ssekiziyivu atutegezeza ng’ensiimbi bwezibadde zitaliiwo naye nga bali mukukola ekisoboka okulabanga bafuna omusaala gw’abakozi bano awamu n’okugula ebikozesebwa mumulimu.

Leave a Reply