Tulakita eremeredde omugoba waayo n’edda ekyennyumannyuma n’etomera ennyumba z’amaduuka, n’omutuuze omu n’abuuka n’ebisago. Bino byabadde Lubaga mu zooni ya Kayanja Triangle okuliraana ennyanja ya Kabaka.
Abatuuze abaabaddewo ng’akabenje kano kagwawo baategezeezza nti tulakita ekika kya Caterpillar nnamba UAE 189F eyabadde eva ku Lubiri, yalemeddwa okwambuka akatunnumba akakomererayo okwegatta ku luguudo lwa Nabunnya n’etandika okudda ekyennyumannyuma.
Bannyonnyodde nti yavudde mu luguudo mpolampola n’edda ebbali, n’esaanyaawo obuyumba omutundirwa amanda okutuuka we yasibidde ku muzigo gw’edduuka n’eyonoona ebimu ku byabaddemu.
Ebisenge ebyabadde bibomoka byagwiridde omuvubuka omu eyategeerekeseeko erya Herman ne bimumenya amagulu n’addusibwa mu ddwaliro e Lubaga nga biwalattaka. Abatuuze baagambye nti abadde akola ku ‘Mobile Money’ emu mu kitundu.
Abatuuze akabenje baakatadde ku kkubo lino eriri mu mbeera embi olw’enfuufu ennyingi eremesa ebidduka okwambuka akatunnumba kano ne bidda ekyennyumannyuma.
Robert Kakooza ssentebe wa zooni ya Kayanja Triangle yategeezezza nti amaze ebbanga ng’ensonga y’ekkubo lino agitegeeza abakulu ku Munisipaali y’e Lubaga naye nga tebafaayo.
Yavumiridde eky’abakulembeze ku Munisipaali y’e Lubaga obutafaayo kukola kkubo lino ate nga abalambuzi abajja okulaba ennyanja ya Kabaka mwe bayita.
Poliisi y’oku Kayanja yaguddewo fayiro y’akabenje ku SD:REF: 08/13/02/2019 nga bwegenda mu maaso n’okunoonyereza.