Omwogezi wa Uganda Police Force CP Fred Enanga; “Njagala okulabula Bannabyabufuzi okwewala enkuŋŋaana wamu n’okukunga abantu okutambula ebitali mu mateeka. Okutambula okutakirizibwa kukome bunnambiro kuba kutaataganya eddembe lya Bannayuganda. Eno y’ensonga lwaki twalemesa Rt. Col. Dr. Kizza Besigye n’enteekateeka ze wiiki ewedde. Mu ngeri yemu okunoonya akalulu ku kifo ky’omubaka wa Palamenti owa Omoro County kutandise leero ng’olwokaano lulimu abantu 6.
Abesimbyeewo ne bagenti baabwe baddembe okukuba enkuŋŋaana nga bwebaagala wabula nga bagoberera enteekateeka eyakiriziganyiziddwako.”