Omukwanaganya w’emirimu mu kibiina kya Youth Brotherhood, Norman Tumuhimbise atwaliddwa mu ddwaliro nga embeera ye tewoomya Nakabululu oluvannyuma lw’okukomezebwawo n’asuulibwa okuliraana amaka ge awo e Kasubi.
Kinnajjukirwa nti Tumuhimbise yali yabuzibwawo abantu abataategeerekeka okumala e sabbiiti nnamba, wabula eggulo abantu be omwabadde ne Mukyala we ne beecwacwana ne balumba Police olunaku lw’eggulo. .
- Wabula bugenze okukya leero nga Tumuhimbise yasuuliddwa okuliraana amaka ge e Kasubi.