Tusaba kutusonyiwa olw’abantu bammwe abattibwa – Pulezidenti Museveni

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni olunaku lw’eggulo yasisinkanye famire okuli ey’omugenzi Col. (Rtd). Charles Okello Engola Macodwogo ne Zebra Ssenyange abattibwa abasirikale ba UPDF mu butanwa nabetondera.
Engola yali Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku nsonga z’abakozi, emirimu wamu n’amakolero so nga Ssenyange yali mukubi wa bikonde.
Pulezidenti Museveni ng’omuduumizi wa w’eggye owokuntikko yatumya famire zino zombi okuzetondera mu butongole ku lweggye lya UPDF kuba abasirikale baalya bebazza omusango guno.
Col. (Rtd). Engola yattibwa mukuumi we Wilson Sabiti, nga 2 May 2023 mu maka ge e Kyanja so nga ye Zebra Ssenyange nga yali mukunzi wa NRM yattibwa abasirikale abaali balawuna mu kiro nga 30 December 2020 mu maka ge e Bwasie.
Famire zino Pulezidenti yaziwadde obuyambi obw’ensimbi nga famire ya Engola yakulembeddwamu muganda we Sam Engola eyasiimye Pulezidenti Museveni olwokubasisinkana ono yawerekeddwako nammwandu Joyce Ayikoru, naboluganda wamu nabakulu okuba mu kika kya Otikokin.
Eya Zebra yakulembeddwamu mutabani we Isaac Ssenyange bagande be wamu ne nammwandu Mercy Mukankusi.
(D/CDF), Lt. Gen. Sam Okiding yeyakiikiridde CDF, Gen. Muhoozi Kainerugaba ku mukolo guno era ku lw’eggye lya UPDF yetondedde famire zino era nazo ezakirizza okubasonyiwa.

Leave a Reply