Tuvumirira ekikolwa kyokutulugunya abantu – Brig. Felix Kulayigye

Omwogezi wa UPDF Brig. Felix Kulayigye avuddeyo nategeeza nti balabye akatambi akatambula ku mikutu gya ‘Social media’ nga kalaga omusajja akubwa abantu ababulijjo n’abasirikale.
Kulayigye agamba nti bakizudde nti abantu babulijjo ku Kyalo Lagot, Mucwini Sub-County, mu Disitulikiti y’e Kitgum bakutte omubbi nebagaana okumutwala ku Poliisi nebatwalira amateeka mu ngalo.
Abatuuze bakubidde RDC wa Kitgum eyabagaanyi okutwalira amateeka mungalo.
Wabula Ssentebe wa LC3 ne Giso basazeewo kumutwala mu Detach ya UPDF omuduumizi wa detach yakirizza abajjaasi be okukola ekikolwa ekyo, nga Unit commander tamanyi.
Abasirikale bano bakwatiddwa era bakuvunaanibwa mu lujudde.
Kulayigye agamba nti bavumirira ekikolwa kino nti era ssemateeka akivumirira teri akirizibwa kutulugunya munne.
Leave a Reply