Loodi Meeya wa Kampala Ssaalongo Erias Lukwago agamba nti agenda kulekera awo okutuuza enkiiko za kkanso okuggyako nga ebiteeso enkiiko zino byeziyisa bitwalibwa nga ensonga era nebiteekebwa mu nkola.
Lukwago bino yabyogeredde mu lutuula lwa kkanso eggulo olwabadde lutudde okuteesa ku nsonga ez’okulaba oba nga abaserikale aba KCCA abagambibwa okuba nga bakwasisa amatateeka oba nga kyebagenda okukola kiri mu mateeka.
Loodi Meeya alaze obwennyamivu obwa kkanso eno obutassibwamu kitiibwa nebyebateesa okulekebwawo ettayo n’agamba nti kino kibafuula abataliiko kyebagasa.