Omwogezi w’eggye lya UPDF yavuddeyo nategeeza nga ekitongole kya Uganda Police Force ekirwanyisa obuzigu obw’emmundu ekya Flying Squad nga kiyambibwako ebitongole byebyokwerinda ebirala byekyakoze ekikwekweto mwekyakwatidde abantu ababadde bambala ebyambalo by’amaggye nebafera mu bitundu by’ekibuga Fort Portal.
Agamba nti oluvannyuma lwokutemezebwako bagenze mu Semuliki Lodge and Bar gyebakwatidde Kanyesige Allan gwebasanze n’omukazi Peace Sudai. Bwebamukunyizza yabatutte mu maka ga Katungi Kelvin nga agamba nti maka ge. Ne Katungi Kelvin naye abadde ku lukalala lwabo abanoonyezebwa naye nakwatibwa. Mugisa Isaaya ne Asaba Abudlatif nabo bakwatiddwa nga bakuumirwa ku CPS mu kibuga Fort Portal.
Agamba nti ebifaananyi bino wansi bya Kanyesige Allan ngayambadde ebyambalo by’amaggye nti era alabiddwako emirundi mingi ngalina emmundu ekika kya basitoola.