Omukulembeze wa National Unity Platform Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine; “Technical Team yabadde yekeneenya offiisi zaffe okufuba okulaba nti bazuula byebayinza okuba nga batadde mu. Wadde nga kikyali kizibu okumanya ebyayonooneddwa, naye twasanze akuuma ka GPS Tracking kasangiddwa mu ttaala y’emu ku motoka zetwaleka ku kitebe. Ne mu Offiisi yange basanzeemu kkamera entono n’ekintu ekirala nga tetunamanya lwaki byateekeddwamu. Ekyenaku twasanzeemu n’ebintu ebiringa ebyawongo nga bikwekeddwa wansi wa carpet.”
Twasanze GPS Tracker mu motoka gyetwaleka ku Kitebe – Bobi Wine
