Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni; “Nze ne Maama Janet Kataaha Museveni olunaku lweggulo twalumalidde Rwakitura nga tuli wamu n’abaana baffe wamu n’Abazzukulu.
Nga tujaguza Ssekukulu, njozayoza Bannayuganda olwokutuuka ku lunaku luno. Twebaza Katonda atukuumye nga tuli balamu, wadde nga tukungubagira banaffe abatuvaako nga abo abafiira e Kiteezi, mu mataba e Bulambuli nawalala.
Wadde nga tulina okusoomozebwa, Uganda esigadde nsi yamirembe era ekyo tukyebaliza Katonda. Akaseera kano akenkuba ka mikisa yadde nga waliwo abonoona ensimbi nga bejalabya. Njakowngera okubyogerako mu bubaka bwange obwomwaka.”
#ffemmwemmweffe