Twetaaga obuwumbi 91 okusasula abazirwanako – Minisita Aleru

Minisitule evunaanyizibwa ku byokwerinda n’abazirwanako egamba nti yetaaga obuwumbi bwa ssente za Yuganda 91 okuva mu Minisitule y’ebyensimbi mu mwaka 2023/2024 okusobola okusasula abazirwanako bonna mu Ggwanga omuli abaalwana okuva mu Ssematalo eyasooka ne ntalo endala omuli nolwaleeta Gavumenti eno mu buyinza.
Okusinzira ku Mubeezi wa Minisita avunaanyizibwa ku Bazirwanako Abason Huda Aleru agamba abazirwanako 79,000 bebalondebwa kyokka ne bakakasako 25000 nga bebatuufu, olwo nebasasulako 14000 kati betaaga obumbi 91 basobole okusasula abasigaddeyo.
Leave a Reply