Twetonda olw’ekikolwa ekyakoleddwa mu Ekereziya – Rev. Fr. Edward Muwanga

Rev Fr Edward Muwanga, Parish Priest wa St. Charles Lwanga Catholic Parish Ntinda avuddeyo neyetondera Bannayuganda kwekyo ekyaliwo omwana omuto omuwala bweyaggya okubatizibwa ngavuga ekimotoka ky’abaana mu Ekereziya.

Obutambi obwatambuzibwa ku mutimbagano bwalaga omwana omuto ngayingira Ekereziya mu kimotoka ky’abaana eky’amasanyalaze okuva ku mulyango omunene okutuuka ku wolutaali era nga waliwo nowa kkamera eyali akwata buli kimu ekigenda mu maaso.

Abali mu Kereziya batunula nga basobobeddwa so nga abamu abagambibwa okuba abazadde naboluganda bbo balabika nga basanyufu nnyo nekyali kigenda mu maaso.

Abantu bangi bavuddeyo nebanenya abazadde b’omwana ono olw’ekifaananyi kyebalaze eri abaana abalala ababadde bazze nabo okubatizibwa ate abalala nebanenya abakulira Ekereziya eno olwobutawabula bazadde bano.

Rev Fr Edward Muwanga, agamba nti ekyabaddewo tekyawadde kifaananyi kirungi nti era kyakoleddwa nga tebasoose kusaba lukusa kuva eri Kereziya. Ono agamba nti yeyakitegeddeko okutuusa ng’omukolo guwedde nategeeza nti singa yakitegeddeko yandibadde takikiriza.

Muwanga agamba nti kino bakikoledde mu kaseera nga ba Ffaaza tebanayingira era nasuubiza nti kino tekijja kuddamu kubaawo.

Amateeka agafuga Ekereziya (Canon 1210) gagamba nti Ekereziya kifo kya kitiibwa nnyo era nga ebintu ebirina okuyigizibwamu oba okukolebwamu birina okuba nga byeyambisibwa mu kusinza oba nga bikwatagana n’eddiini nga bisaanidde okuleetebwa mu kifo ekitukuvu.

Leave a Reply