Twinomugisha abadde amaze emyaka 22 ku alimanda ateereddwa

DPP avuddeyo naggya emisango ku Alex Twinomugisha, ngono yasindikibwa ku alimanda mukomera e Luzira Upper Prison mu October 1999 gyamaze emyaka 22 nga tawozesebwa.
Twinomugisha nga yaliko omusirikale wa UPDF yakwatibwa ku bigambibwa nti yatta abayizi 3 abettendekero lya Makerere nti wabula oluvannyuma, mu kkooti yavunaanibwa musango gwakutta eya omulangira wa Tooro Happy Kijjanangoma, naweebwa ekibonerezo kya kuttibwa neyali Katikkiro wa Tooro John Sanyu Katuramu.
Emisango gyokutta abayizi b’e Makerere gyo tegyamuvunaanibwa okutuusa lwateereddwa oluvannyuma lw’emyaka 22.
Twinomugisha yakwatibwa nga 19, 1999 nga kigambibwa nti yatta Maria Mirindi Birungi Katasi, eyali mu mwaka ogwokusatu nga asoma Social Sciences, kizibwe wa Maria, Cpl Mirindi Amooti Kajabagu ne Richard Tumwesigye, bano nga baali basoma mateeka Mirindi yali mu mwaka gwakuna ate Richard yalu mu mwaka gwa kusatu nga baali bava ku kabaga ka Bannamateeka.
Leave a Reply