Uganda Communications Commission (UCC) erabudde Kkampuni za Bus ezitambuza ebitereke omuli amabaasa okukikomya obunnambiro oba si kyo bajja kusimbibwa mu mbuga z’amateeka.
Mr Fred Otunnu, akola nga Executive Director wa UCC, yagambye nti Kkampuni za Bus 20 zitambuza ebitereke nga amabaasa nga ate tezirina lukusa.
Yagambye nti Kkampuni 10 zokka zezirina olukusa olutambuza amabaasa wamu n’ebitereke. Bwatyo yasabye abantu okwewala okukozesa Kkampuni zino kuba tewali bukuumi bwa bitereke byabwe.
UCC yafulumiza ebisale ebipya eri Kkampuni zonna ezaagala okutambuza ebitereke okugeza ezo ezibatambuza ebitereke okuva mu kibuga ekimu okudda mukirara (City – to – City) omwaka zakuwa license ya $400 ke kakadde kamu mu emitwala attaano mw’ena (1,540,000/=) ate ezo ezibitwala okwetoloola eggwanga lyonna zakusasula $1,000 bwe bukadde busatu mu emitwalo kinaana mw’ena (3,840,000/=) . Ate ezibitwala mu bitundu bya East Africa ez’enjawulo zakusasula$2,500 bwebukadde mwenda mw’emitwalo nkaaga (9,600,000/=) zo ezibitwala emitala w’amayanja zakusasula $5,000 bwebukadde kumi namwenda mw’emitwalo abiri (19,200,000/=)
Zino ze Kkampuni za Bus ezikirizibwa okutambuuza ebitereke
KK Coaches Limited
Homeland Courier Services
Mewa Excel Couriers
Link Bus Couriers
Uganda Post Limited
Kampala Coaches Limited
Modern Coast Courier
Gateway Bus Services Limited
Mash Bus Services Limited
Easy Coach Bus Services