Kikakasiddwa nti okutandika n’ennaku z’omwezi 1 January omwaka ogujja ogwa 2024, Uganda tegenda kuddamu kugula mafuta kuva Kenya nga kiddiridde okuyingira mu ndagaano ne Vitol Bahrain E.C okumala ebbanga lya myaka 5.
Bino okubaawo kiddiridde Kenya okugaana okusaba kwa Uganda kweyali etaddeyo ng’esaba bakole endagaano ebakkiriza okukozesa omudumu gw’amafuta ogwa Kenya Pipeline Company, Kenya kyeyagaana ng’egamba Uganda tebadde neetegefu kusasula misolo egibadde gigigerekeddwa.
Ensonga endala enokoddwayo ye ya Uganda okugaana okuteeka amasundiro g’amafuta mu Kenya nga kino ky’ekimu kubisaanyizo ebyateekebwawo eggwanga lya Kenya singa oba waakukolagana nalyo mu nsonga z’amafuta. Kenya ebadde ewa Uganda amafuta ebitundu 90% ng’ebitundu 10 bibadde biva Tanzania.