Ekitongole ekivunaanyizibwa ku mutindo gw’ebintu mu ggwanga ekya Uganda National Bureau of Standards – UNBS kyagadde amakolero g’obuveera agawerako nga gano galangibwa okufulumya obuveera obulina Microns eziri wansi wa 30 nga kimenya etteeka lya UNBS ACT CAP 327 akawaayiro aka 4.6 aka US 773:2007.
Amakolero gano kuliko: Jesco Plastics Limited, Teefe plastics e Kawempe – Ttula, Moon plastics limited ku Bombo road e Kawempe ne Earth Quec Enterprises Limited.
Okusinziira ku UNBS, kigambibwa nti abakozi basangiddwa nga tebalina byambalo bituukana n’omutindo nga bakola. Kigambibwa nti amakolera g’obuveera gonna gaweebwa ebbanga lya myezi esatu nga lyaggwako mu May 2019 okussa ekiragiro mu nkola.
Bbo banannyini makolero gano bagamba nti basanga okusoomozebwa okwamaanyi kuba Uganda tebakiriza kukola, kulagiriza oba kutunda buveera obuli wansi wa Microns 30 so nga ensi ezituliraanye zzo akatale kaazo kagula obwo obuli wansi wa Microns 30.