Abakozi okuva mu Kitongole ekivunaanyizibwa ku by’enguudo mu Yuganda ekya Uganda National Roads Authority badduse zambwa okutuuka mu Lwera ku luguudo oluva mu Kampala okudda e Masaka okuziba ekinnya ekyabotose mu Luguudo wakati.
Kino kyabotose mu bigoma ebyateekebwa mu luguudo luno ku gumu ku migga egiyita mu Lwera okugenda mu nnyanja Nalubaale. Kigambibwa nti ekituli kyavudde ku bigoma ebinafu ebyateekebwayo nga tebisobola okuwanirira buzito bwa motoka ezikozesa ekubo lino.