Lance Corporal, Geoffrey Odaga eyatta abantu 3 ababulijjo mu bbaala emu mu Kabedo-Opong trading centre mu Division y’e Badege mu municipality y’e Gulu amaggye agasazeewo gamuwozeseze mu lujjudde.
Ekkooti y’amaggye ebadde abasirikale ebawozeseza Makindye mu kkooti yaayo naye ono ye esazeewo emuwozeseze mu lujjudde e Gulu nga n’abatuuze balaba okutandika leero okumala enaku 5.
Omwogezi w’amaggye ga UPDF Brig. Richard Karemire akakasiza ensonga eno. Kinajukirwa nti Odaga nga wa UPDF mu kibinja eky’okuna e Gulu yagenda mu bbaala ku ssaawa nga ttaano ez’ekiro nabba ssente ezitanamanyika muwendo wamu n’omwenge oluvannyuma n’akuba amasasi mu bantu abaali banywa omwenge. Wabula oluvannyuma yasangibwa yebase oluvannyuma lw’okunywa omwenge omungi era nakwatibwa.