updf ekutte abaccayina n’ennuuni nga bazikukusa

Ekitongole ky’amagye ga UPDF ekya Fish Protection Unit ekirwanyisa envuba embi ku nnyanja kikoze ekikwekweto mwe kikwatidde bannansi b’e China babiri nga bakukusa ennuuni ezikunukkiriza mu bukadde 27.

Abaakwatiddwa ye Lee Zhiming ne Liv Lepeng nga bannansi be China be bakwatiddwa mu bitundu by’e Kalungu-Bunga mu munisipaali y’e Makindye nga bakukusa ennuuni kiro 180 nga baabadde bategeka kuzitwala mu ggwanga ly’e China mu Kampuni ya Paca.

Innocent Mugabi avunaanyizibwa ku by’ekikugu mu minisitule y’ebyobulimi yategeezezza nti, abachina bano okukwatibwa kiddiridde abamu ku batuuze mu kitundu kino okubatemyako nga bwe waliwo bannansi b’e China abaleeta obwenyanja obuto mu kitundu kyabwe.

Yagambye nti, baasitukiddemu nga bali wamu n’abekitongole ky’amagye ga UPDF ekirwanyisa envuba embi ne bakwata abachina bano lubona nga bamaze okusunsula ennuuni zino nga tebalina layisinsi ebakkiriza kukola mulimu guno era nga baabadde bakolera mu kifo ekitakkirizibwa mu mateeka.

Yagambye nti, abachina bano abaakwatiddwa balina munnaabwe abakulira ali mu China era ebikolwa byabwe bino byonoona omulimu gw’okuvuba kubanga bavuba obwennyanja obuto era yategeezezza nti bakyabakuumidde ku poliisi y’e Kabalagala essaawa yonna bagenda kubatwala mu kkooti babagguleko omusango gw’okusunsula ennuuni nga tebayise mu mateeka.

Gordon Musinguzi mukessi w’ekitongole ky’amagye ga UPDF ekya Fish Protection Unit yagambye nti, abachina bano balina abavubi be bakolagana nabo ku nnyanja Nalubaale ababaleetera obwennyanja obuto ne babujamu ennuni.

Musinguzi yasabye abavubi okubeera abagumiikiriza balinde ebyennyanja bikule olwo balyooke babivube nga beeyambisa envuba ekkirizibwa mu mateeka ate abo bonna abeenyigira mu mulimu gw’okutunda ennuuni bafune layisinsi ebakkiriza okukola omulimu guno.

Leave a Reply