UPDF ekutte musajja waayo abadde yenyigira mu bubbi

Eggye ly’eggwanga erya Uganda People’s Defence Forces – UPDF lyakutte omusirikale waalyo kubihambibwa nti abadde agaba ebyambalo by’amaggye ne Uganda Police Force eri abantu abalowoozebwa okuba abefuula abebyokwerinda nebabba Bannayuganda.
WOII Authur Nuwagaba, ngakola nga Finance Officer ku Chieftaincy of Military Intelligence – CMI, Mbuya yagambibwa okubawa ebyambalo.
Ono okukwatibwa kyaddiridde ekikwekweto ekyakoleddwa mu Kidokolo Zone e Kawempe Ttula mu Kawempe Division nga kigambibwa babadde babba abantu bebakwata mu bikwekweto byebakola.
Ababiri abakwatiddwa kuliko Ashraf Agaba n’omulala eyategeerekeseeko erya Ahabwe. Ye munaabwe Cedrak aka Vincent Atwine ng’ono abadde yefuula Assistant Superintendent of Police – ASP ye yadduse.
Owebyokwerinda eyenyigidde mu kikwekweto kino yategeezezza Radio Simba nti Nuwagaba abadde awa bano ebyambalo okwenyigira mu bintu ebimenya amateeka.
Omwogezi wa UPDF Brig. Flavia Byekwaso yategeezezza nti yabadde tanategeezebwa ku kikwekweto kino.
Ye omumyuuka w’omwogezi wa Kampala Metropolitan Police, ASP Luke Owoyesigyire agamba nti Poliisi temanyi bano gyebabadde bajja byambalo.
Bya: News Room
Leave a Reply