Ekitongole ekivunaanyizibwa kukusolooza omusolo mu Ggwanga ekya Uganda Revenue Authority (URA) kyakoze ekikwekweto nekigendererwa ekyokufuuza amadduuka g’ebizigo mu Arcade mu Downtown agatunda ebizigo ebyawerebwa wabula nga bikukusibwa nebiyingizibwa mu Ggwanga. Arcade zino kuliko; Mid City Arcade, Jumbo Arcade, Nambuusi Mariam arcade,By pass Arcade ne Corner House.
Ekikwekweto wekyagweredde nga ebizigo ebirimu ekirungo kya hydroquinone nga kiviirako abakozesa ebizigo bino okulwala kookolo wolusulu ebiwereza ddala kiro 500 byebiboyeddwa okuva mu maduuka. Ebizigo bino byakwokebwa.