URA ekutte emotoka 10

Ekitongole ekiwooza ky’omusolo mu ggwanga ekya Uganda Revenue Authority kikutte emotoka ezebbeyi 10 nga kigambibwa nti banyinizo banjigirira ebiwandiiko ebizikwatako okusobola okwebalama omusolo omutuufu gwezirina okuwa.

Ku zino kuliko Range Rover 8, Chrysler 1 ne Cayenne Turbo S 1 nga zonna zakwatiddwa mu kikwekweto kyebayise Operation Red Flag.

Leave a Reply