URA EYAGALA BOBI WINE ASASULE OBUKADDE 337 NGOMUSOLO GW’EMOTOKA YE

URA EYAGALA BOBI WINE ASASULE OBUKADDE 337 NGOMUSOLO GW’EMOTOKA YE: https://youtu.be/IjZGoWT39vA
Munnamateeka wa Hon. Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine, Anthony Wameli owa Wameli and Co. Advocates avuddeyo nategeeza nga ekitongole ekivunaanyizibwa ku kusolooza omusolo mu Ggwanga ekya Uganda Revenue Authority bwekisabye Bobi Wine okusasula emitwalo gya Ddoola 166,700 mu za Yuganda bwebukadde 337,698,776/=.
Mu bbaluwa eya nga 20-April-2021 (WAC/COMC/GEN/2021) egamba nti oluvannyuma lwokuddamu okwekkeneenya emotoka yo Toyota Land Cruiser V8 nnamba UBJ 667F tukikakasizza nti ddala emotoka yo teyitamu masasi.
URA eyongerako nti ekizudde nti mukusooka bweyali ewandiisibwa tebawaayo bikwatako bituufu ekikontana ne Sections 203 eya East African Community Customs Management Act, 2004.
https://youtu.be/IjZGoWT39vA
Leave a Reply