URC evuddeyo ku biyumba by’eggaali y’omukka ebyagulibwa

Ekitongole kye ggaali y’omukka ekya Uganda Railways Corporation kivuddeyo ku biyumba by’eggaali y’omukka ebipya ebyagulibwa wabula nga biwanvu nnyo tebisobola kukyuukira ku ‘triangles’ eziriwo kati ku nguudo z’eggaali y’omukka mu Yuganda.
URC egamba nti bino bisobola bulungi okutambulira ku Meter Gauge Railway System, era nga mu kaseera kano ba Engineer n’abagoba bali mukutendekebwa wamu n’okugezesebwa okusobola okuvuga eggaali z’omukka zino empya.
URC era etandise okukyuusa mu nguudo z’eggaali y’omukka naddala ‘triangles’ okusobozesa ebiyumba bino okutambula obulungi nga 15-November-2021 terunatuuka.
Leave a Reply