Omumyuuka w’Omukulembeze w’eggwanga lya Tanzania H.E.Philip Isdor MPANGO, atuuse mu Ggwanga enkya yaleero okuteeka omukono ku ndagaano esembayo okusobozesa okusima omudumu gw’amafuta ogugenda okuva e Yuganda okugenda mu Tanzania.
H.E. Mpango ayaniriziddwa Hon. John Mulimba n’abakungu abalala okuva mu Minisitule y’ensonga z’ebweru w’eggwanga.