Wabaddewo okusanyalala mu by’entambula e Namungoona

Ebyentambula bisanyaladde enkya yaleero ku ssundiro ly’amafuta erya Total e Namungoona ku luguudo lwa Kampala – Hoima Uganda Police Force bwesazeeko ekitundu kino olwokutya okubaddewo nti wayinza okubeerawo bbomu.
Ababaddewo bagamba nti waliwo omusajja awummuzza ensawo bbiri kussundiro lino.
Oluvannyuma kizuuliddwa nti ensawo zino zibaddemu ngoye n’emmere oluvannyuma lwannyini nsawo ategeerekese nti ye Isaac Kayima okukomawo nategeeza nti abadde ayingira mu bbanka kwekuziwumuzzaawo.
Leave a Reply