Police eyise bannannyini birabo by’omwenge abakakkalabiza mu Maganjo zzooni mu Munisipaali y’e Nansana mu Disitulikiti y’e Wakiso, olw’ebigambibwa nti waliwo abantu 11 abaafudde oluvannyuma lw’okwekatankira Walagi woomu buveera ssabbiiti bbiri emabega!!
Emilian Kayima nga ono ye Mwogezi wa Police mu Kampala n’emiriraano, agamba nti waliwo abamu ku bannannyini b’ebirabo abaayitiddwa nebabuuzibwa akana n’akataano oba nga omwenge gwebatunda gwegwaviiriddeko abantu bano okugenda ezzirakumwa.
Agamba nti ab’enganda z’abagenzi bagamba nti abantu baabwe okufa baasoose kufuna kamunguluze, okusesema n’okuziba amaaso. Agamba nti Police etandise okunonoyerereza ku nsonga eno.
Kayima ayongerako nti waliwo omwenge ogwajjiddwa mu bifo bino negutwalibwa mu Laboratory ya Gavumenti okwongera okwekebejjebwa.
Kino kijjidde mu kiseera nga ne mu mwaka gwa 2014 abantu abawerera ddala 50 baafa ku muliraano e Kenya oluvannyuma lw’okunywa omwenge gwomu buveera ate abawerako baaweebwa ebitanda nebaziba n’amaaso.