Waliwo ekibinja ky’Abalakole okuva mu Igara East mu Disitulikiti y’e Bushyenyi nga bakulembeddwamu Bishop Adam Nkwatsa abatandise okusiiba kwanaku 5 olwaleero nga begayirira Katonda aveeyo ayambe Omubaka waabwe ali ku alimanda mu Kkomera e Luzira Micheal Mawanda ayimbulwe.
Mawanda yakwatibwa ne Babaka banne abalala 2 Bannakibiina kya National Resistance Movement – NRM ouli; Ignatius Mudimi Wamakuyu owa Elgon County nowa Busiki County Paul Akamba ssaako Munnmateeka Julius Kirya Taitankonko nga kigambibwa nti bano bezibika ensimbi obuwumbi 164 Gavumenti zeyawaayo okuliyirira ebibiina byobwegassi ebyafiirwa ebintu byabyo mu kaseera ak’entalo.