Waliwo abefuula Abasumba emisana ekiro nebafuuka abasawo bekinaansi

Omwogezi wa Uganda Police Force Rusoke Kituuma avuddeyo nategeeza nti Bannayuganda bangi banyagiddwa abasumba b’Abalokole abafere okwo gattako abasawo abekinaansi ababbako obukadde n’obukadde bw’ensimbi. Kituuma ategeezezza nti okunoonyereza kwebakakolawo kulaga nti abafere bano bajja nga basumba emisana olwo ate ekiro nebafuuka abasawo abekinaansi. Ebifo mwebakolera bino mulimu amasabo nti era bebaba bafeze bwebagezaako okubanja ebintu oba ssente zebaba bababbyeko nga babatiisatiisa.
Kituuma ategeezezza nti balina bebakutte era nga bateekateeka okubooleka Eggwanga wamu n’okubasimba mu mbuga z’amateeka. Akubirizza Bannayuganda okubeera abegendereza ennyo era n’okuloopa abafere bano.
#ffemmwemmweffe

Leave a Reply