Waliwo omwana ow’emyaka 5 asangiddwa ne Ebola e Kasese


Ekitongole ekivunaanyizibwa ku by’obulamu munsi yonna ekya World Health Organization wamu ne Minisitule y’ebyobulamu mu Ggwanga bivuddeyo nebikakasa nga Yuganda bwerumbiddwa ekirwadde kya Ebola mu Disitulikiti ey’e Kasese oluvannyuma lw’omwana ow’emyaka 5 nga yabadde ne bazadde be okuva ku muliraano mu Democratic Republic of the Congo okuyingira Yuganda nga bayita e Bwera okusonola okufuna obujanjabi. Ono bamutuusirizza mu Ddwaliro ly’e Kagando okufuna obujanjabi. Mukugezaako okuzuula ekyabadde kimuluma aba Uganda Virus Institute bekebezze omusaayi era nebakizuula nti alina Ebola. Onto yatwaliddwa mu Bwera Ebola Treatment Unit.

Leave a Reply