Sipiika wa Palamenti Anita Among Annet; “Jacob yali ayagala okubeera Sipiika. Njagala okwebaza Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ne Maama Janet Kataaha Museveni, Pulezidenti wasuubiza Jacob Oulanyah nti olunaku lumu olimufuula Sipiika wa Palamenti era nokituukiriza. Kituufu Jacob yafuuka Sipiika. Nzijukira nayagala okuva mu lwokaano lw’omumyuuka wa Sipiika wabula Jacob naŋŋumya nsigalemu.
Njagala okwebaza bammemba ba CEC ya National Resistance Movement – NRM. Jacob yali ayagala okubeera Sipiika wa Palamenti, era mwe bammemba ba CEC mwamufuula Sipiika. Mbeebaza nnyo olwokuyamba Jacob okutuukiriza ekirooto kye.”
Mu ngeri yeemu Sipiika wa Palamenti Among alagidde Ababaka bonna okubaako kyebawaayo eri ekibiina kya Jacob Oulanyah Education Trust Fund ekigenda okuweerera abaana be wamu nabo babadde ayambako.