Wetaaga wabeewo okunoonyereza ku ttemu eryakolebwa ku Bannayuganda – Kabaka Mutebi

Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II avuddeyo nategeeza nti wetaaga wakolebwewo okunoonyereza mu bwangu okwenjawulo mu kwekalakaasa okwaliwo oluvannyuma lwa Munnakibiina kya National Unity Platform – NUP Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine okukwatibwa.
Okwekalakaasa okwabalukawo nga 18-19 November mu bibuga eby’enjawulo mu Ggwanga abantu abasoba mu 50 bebattibwa abebyokwerinda n’abalala bikumi na bikumi nebabuuka n’ebisago eby’enjawulo.
Kabaka Mutebi II bino ebigeraageranyizza ku byaliwo mu January wa 1945 abantu bwebekalakaasa mu ttawuni za Yuganda ez’enjawulo 8 nebattibwa ate 14 nebalumizibwa.
Wabula, Kabaka agamba nti Gavumenti yabafuzi b’amatwale teyazingira mikono mabega wabula yakola okunoonyereza okwenjawulo ku kyaviirako okwekalakaasa kuno.
Kabaka agamba nti abantu bangi abatalina musango abattibwa nga tebaali mu kwekalakaasa kuno nga tekirina kulekebwa kumala gagenda kityo.
Bino abyogedde bwabadde aggulawo emisinde gy’amazaalibwa ge ag’emyaka 65 egy’okuyuguuma mu Lubiri e Mengo enkya yaleero.
Leave a Reply