Abatuuze ku byalo bisatu ebisangibwa mu Gombolola y’e Nabbaale mu Disitulikiti y’e Mukono okuli Makukuba, Nkulagirire, ne Kabuulo bino nga bisangibwa mu Ssazza ly’e Nakifuma basula ku tebuukye olwo omuntu eyeyitta nannyini ttaka abasayira emmere yaabwe okwo nga kwatadde n’okubagobaganya.
Mu kiro ekyakeesezza olwajjo olusuku oluweza yiika 3 wamu n’omusiri gwalumonde bisanyiziddwawo ku kyalo Nkulagirire era nga bino bya Namagoye Jimmy wamu ne munne Sunday Omunya.
Okusinzira ku Jimmy Namagoye agamba nti ye talina buzibu nannyini ttaka eyeyita Kabagambe Nicholas wabula nabo ab’ebibanja abawe ku kitiibwa aleme kubasendera mmere era wano wasinzidde nasaba okuyambibwa okuva eri ab’obuyinza.
Ono alinako nesamba y’ebikajjo wabula nga basajja ba Kabagambe bazze nga baliteekera omuliro era nga emirundi mingi bazze bekubira enduulu naye nga buterere.
Kawefubbe waffe wokufuna Kabagambe ayogerwako agudde butaka wabula netwogerako n’omubaka w’essaza ly’e Nakifuma Palamenti Ssimbwa Fred Kaggwa atutegeezezza nga Kabagambe ono bwakoze effujjo erya buli kika ku bantu bano natuuka n’okubasendera emmere yaabwe, okulya ensolo zaabwe wamu n’okubaggalira mu makomera ag’enjawulo.