Wakati mu nammungi w’abawagizi abeekuluumuludde okuva ebule n’ebweya okulaba tiimu ya Yuganda ng’ettunka n’eya Bukinafaso mu kusunsulamu aneetaba mu mpaka z’ekikopo ekiwakanirwa amawanga ga Africa , empaka eziriyo mu 2017 . Yuganda erwanye nga bwekisoboka okuwangula Bukinafaso e Nambole naye ne kigaana okukkakkana nga bagudde maliri nga tewali alabye katimba ka munne .
Yuganda efunye emikisa egiwedde naddala mu budde obusembayo nga n’ogumu ku gyo gubadde gwa Oloya gw’akubye ebbali mu ddakiika ye 90 .
Kino kitegeeza nti Yuganda egenze ku bubonero musanvu (7) ate ne Bukinafaso musanvu, Yuganda eddamu kukyalira Botswana .
Omupiira gwetabiddwako omumyuka wa Pulezidenti Edward Kiwanuka Ssekandi, Eyaliko Ssaabaminisita wa Yuganda ate era eyavuganya ku bwa Pulezidenti mu kalulu ka 2016 akaakaggwa John Patrick Mbabazi , Minisita Ronald Kibuule n’abalala .