Yuganda ekuza olunaku lwa Janani Luwum.

Omugenzi Archbishop Janani Luwum.
Omugenzi Archbishop Janani Luwum.

Olwaleero bannayuganda bakuza olunaku lwa Ssaabalabirizi Janani Luwum okujjukira obulamu bwe wamu n’obuwerereza mu ggwanga.

Emikolo emikulu giri Mucwini mu disitulikiti ye Kitgum naye ne mu  bitundu ebirala mu masinzizo basabye. Guno gwemulundi ogusoose okukuza olunaku luno.

Luwum yattibwa Pulezidenti Amin Dada nga 16 ogwokubiri mu 1977 lwakubuuza nakwemulugunya ku ngeri abantu gyebaali battibwamu mu biseera ebyo, era nga Amin gamukuba masasi.

Olunaku luno olwa nga 16 ogwokubiri  lwasalibwawo Pulezidenti Museveni omwaka oguwedde lube lwa kuwummula.

Akuliddemu okusaba ku mikolo gy’okujjukira Luwum ye Ssaabalabirizi wa Yuganda Stanley Ntagali era nga lutambuzibwa ku mulamwa ” Yesu Kulisitu lye ddembe “,  ne Pulezidenti Museveni ayitiddwa okubaawo ng’omugenyi.

Leave a Reply