Ekitebe kya Yuganda mu DRC kyakubeera n’amaka agaakyo ekizimbe ekiwemmense obukadde bwa ddoola bubiri n’ekitundu kinaaba kiwedde mu Kibuga Kinshasa ku Ouganda Avenue.
Okusinziira ku akolanga nga Omubaka wa Yuganda mu DRC, Dr Edith Namutebi, ettaka lino ekizimbe kwekizimbiddwa lwaweebwayo Pulezidenti Mobutu Sese Seko eri mukwano ggwe Pulezidenti Idi Amin Dada mu gye nsanzu. Amin naye yali awadde Mobutu ettaka e Kololo.