Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni bweyabadde ayogerako eri omukutu gw’amawulire ogwa TRT bweyabuuziddwa ku nsonga ya mutabani we era omuduumizi w’eggye lya UPDF eryokuttaka Lt. Gen. Muhoozi Kainerugaba okulaga obwagazi bw’okwesimbawo ku bwa Pulezidenti mu 2026, yavuddeyo nasaba Bannayuganda nabo abagoberera ensonga z’ebyobufuzi okukomya okufumiitiriza ennyo ku kabaga ka mazaalibwa kuba kaali kabaga bubaga; “Kaali kabaga kamazaalibwa. Abantu baali baagala era nebajja ogutali musango. Naye bajja lwakabaga kamazaalibwa kyokka. Bannayuganda balina eddembe okulondawo ani gwebaagala abakulembere era eggwanga lya Bannayuganda bonna so ssi Famire yange nga Museveni.”