Minisita avunaayizibwa ku nsonga z;ebweru w’eggwanga, Sam Kahamba Kuteesa agamba nti kkooti etaawulula enkaayana z’amawanga agali ku ssemazinga wa Afirika yaweebwa obuyinza okukola ku nsonga ezeekuusa ku kulinnyirira eddembe ly’obuntu wamu n’ensonga endala nnyingi, yensonga lwaki eggwanga lyattu Yuganda ligenda kuva mu kkooti y’ensi yonna.
Kuteesa agamba nti kkooti eno etaawulula enkaayana z’amawanga g’ Africa esobola okuba ey’amaanyi era eweereza obulungi ennyo n’okusinga ey’ensi yonna singa tugyongeramu amaanyi n’okugissaamu ensimbi.
Minisita bwatuuse ku ky’abanoonyi b’obubudamo, n’ategeeza nti Yuganda erina abantu abanoonyi b’obubudamu abakunukkiriza eyo mu kakadde olw’enteekateeka ennungi eriwo mu ggwanga gyebali .
Bino abyogeredde ku ssengejjero lya Gavumenti erya mawulire mu Kampala – Uganda Media Centre.