Bbanka y’ensi yonna evuddeyo nerangirira nga bweyisizza ebbanja lya bukadde bwa ddoola 48 bwebuwumbi 181 okuyamba ku Yuganda okulwanyisa enzige.
Okuva mu mwezi ogw’okubiri, Disitulikiti eziwerera ddala 24 mu ttundutundu ly’e Acholi, Karamoja, Lango, Sebei, Teso ne Bugisu zezibadde zibonyabonyezebwa enzige. Kino kireetawo okutya eri obukadde n’obukadde bw’abantu naddala ku mmere n’obulamu obulala.
Kino wekigidde Yuganda ebadde yakasaasanya obuwumbi 20 mu kulwanyisa enzige.
Zino zezimu ku nsimbi ez’emirundi ebiri Yuganda zeyagala okwewola okuva mu Bbanka y’ensi yonna nga eddala eritanayisibwa lya bukadde bwa Ddoola 300 kekesedde kamu n’obuwumbi kikumi okukozesebwa mukulwanyisa ekirwadde kya COVID-19 mu mwaka gw’ebyensimbi guno.