Bannayuganda banange naddala Bazzukulu bange,
Mbalamusiza, ebbanga liyiseewo nga President Trump byatera okuyita amawulire ag’obulimba naddala mu Monitor ne TV yaabwe eya NTV nga balaga nti Muzzukulu waffe ow’eddalu Bobi Wine mbu ali bubi nnyo tasobola nakwogera n’ebirala.
Babadde babijweteka nti olw’okuba Ababaka bayisibwa bubi nga babakwata, ebitongole byebyokwerinda byandiba nga byalumya nnyo Bobi Wine.
Nasazewo nembuuza abasawo b’amaggye kuba olw’okuba bakolera eggye erisinga empisa, bagoberera nnyo amateeka nga balina kyebakola. Bobi Wine yali yakebeddwa dda abasawo mu Arua, Gulu ne Kampala, nga talina yadde ekisago ku mutwe oba mu kifuba wadde eggumba erimenyese, bwebangambye
Kati abo abakola amawulire ag’obulimba n’abamu mu bitongole byebyokwerinda besibye ku ky’okukuba emotoka yange. Ekyo si kyekizibu ekisaanye okutunuulirwa waliwo ekisingako. President alina obusobozi nga ali yekka oba nga alina obukkumi okwelwanako sikubakasuka amayinja bokka wabula ne kubulumbi obulala bwonna.
Kino nkikoze okumala emyaka 48 egiyise, nakikola nga amaggye ga Amin ganumbye nga 22-Jan-1973 e Mbale, nakikola ku musirikale wa Kenya Patrick Shaw e Nairobi mu 1978 ne mu 2003 nga nwana ne Tabuley okuliraana Atiriri.
Ekizibu ekisinga kya Bannabyabufuzi nga Kassiano Wadri ne Bobi Wine abatandiseewo oba abakkiriza ebibinja bitalina mpisa nga babikweka mu by’okulonda nga babeyambisa mu bifo ebirimu abantu abangi nga batambula bakutte amayinja, bakuulayo pavers ku makubo nga babikozesa nga missile okulumba Bannayuganda, abakyala n’abaana abatalinako ayamba.
Abakyala n’abaana bangi balumbibwa e Jinja, e Bugiri ne mu Arua Municipality. Poliisi ejakufulumya obujjulizi ku bino byonna. Abakazi bangi basobezebwako e Jinja ne mu Arua municipality. Abalala babatiisatiisa nga n’oluvannyuma nebabakuba, kino kyebayita obutujju mu ndowooza yange.
Bino byonna byagenderera kutiisa bawagizi ba NRM abasing obungi obutajja kulonda okusobozesa bbo abatono okuwangula. Kino bakikola bwebasomba n’abantu okuva mu bitundu ebirala okulonda mu Jinja East, Bugiri ne Arua Municipalitu. Obujjulizi bueuniikiriza era tujja kubuleeta mu Kkooti.
Bwetuba tulonda wonna mu ggwanga kibazibuwalira okukozesa obukodyo buno kuba batono nnyo.
Mu Kampala, kikwasa enaku nti babadde bakikozesa ebbanga lyonna, era nga ddala kituufu mu Arua, Jinja ne Bugiri kyabakolera kuba aba NRM abasing obungi batya okulonda. Mu Arua Municipality abalonzi 16,000 ku 46,000 be balonda yiiyi!!!
Twalwanirira eddembe lya Bannayuganda okulonda nga tewali abatiisatiisa era tujja kukirwanirira. Twalina okulonda kw aba Ssentebe era ebyalo 54,713 ku byalo 60,774 mu Uganda yonna nga basimba mu mugongo, tewaliyo ffujjo, yadde okubba obululu kuba abantu be baali mu mitambo so si abakakiiko k’ebyokulonda abali b’enguzi abakolagana ne bannabyabufuzi abali b’enguzi okunafuya amaanyi g’abalonzi nga babbira wamu n’okutiisatiisa abantu.
Kati aba opposition bannakigwanyizi mbategeesa nti kati omuzannyo gw’okuwamba Democracy guweddeko. Tetujja kukiriza kutiisatiisa kwonna kuba kwa bigambo oba bikolwa. Ekimala kimala. Nammwe ab’emikutu gy’ebyempuliziganya mbalabula, mukole omulimu gwammwe, muwe amawulire okuva kuluddwa lwonna.
Ebitalekeka;
Okukasuka amayinja mu bifo ebizimbe obeera n’ekigendererwa eky’okutta, mujjukira omusirikale wa Poliisi AIP Ariong John Micheal yattibwa mu Kampala okuliraana Ppaaka ya takisi enkadde yakubwa jinja abantu abatalina mpisa. Kati olwo abawagizi ba NRM abatalina ayamba abaakubwa amayinja mu Arua ne Bugiri?
Ekirala, Obusiiwufu bw’empisa obwa babaka ba Opposition abamu bweyoleka mu Parliament mu biseera bya Age Limit. Mukifo kyokuwanyisiganya ebirowoozo, bakuba babaka banaabwe, bakasuka obutebe, bakutula emizindaalo n’ebirala. Kino kyakolebwa mu Parliament omuli ne camera nga buli omu alaba.
Kati ate ebikolwa nga ebyo bwebaleeta ku nguudo?
Ekirala, nga oggyeeko abangi abalumizibwa, ate ebintu ebyayononoke, ebitundu 70 ebyabalonzi ebyatya okujja okulonda olwokutya effujjo n’okusobozebwako mu Jinja ne Arua. Twamaze dda okufiirwa abavubuka abato babiri e Bugiri ne Arua lwaffujjo. Bano abakulemberamu kino tetujja kubakiriza kuddamu kukola kino.
Oyo yenna nga mukwano gwa bannabyabufuzi abato nga Bobi Wine musaana mubawe amagezi nga enkola z’okukozesa obwangu nga bayita mu kubba, okuleeta abalonzi, okutiisatiisa aba NRM wamu n’okubba obululu bigenda kutomeza Uganda. Ebyo bannabyabufuzi abato abaliwo mu budde bwamefuga byabakolanga era byavaamu buzibu.
Nammwe bannakibiina kya NRM abato, mpulira mutandise okwenyigira mu kubba. Ekirungi mwe emukozesa ffujjo, njakubagoba mu NRM. Munnabyabufuzi analeeta enkyuukakyuuka alina kweyisa nga Mulokole, tabba, talimba, tatta basibe, tabonyabonya basibe bwetutyo bwetwawangula.
Yoweri Kaguta Museveni
President.
Akatalekeka: Hon. Zaake yatuloka mu kadduukulu ka Poliisi, era Poliisi emunoonya.